Esther 1:10 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo ku lunaku olwomusanvu, Kabaka Akaswero mu ssanyu lingi olwa wayini gwe yali anywedde, n’alagira abalaawe musanvu, abaamuweerezanga: Mekumani, ne Bizusa, ne Kalubona, ne Bigusa, ne Abagusa, ne Zesali ne Kalukasi,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ku lunaku olw'omusanvu, omwoyo gwa kabaka bwe gwasanyuka olw'omwenge, n'alagira Mekumani, Bizusa, Kalubona, Bigusa, Abagusa, Zesali ne Kalukasi, abalaawe musanvu abaaweererezanga mu maaso ga Akaswero kabaka,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ku lunaku olw'omusanvu olw'ekijjulo, kabaka bwe yanywa omwenge n'acamuka, n'ayita abalaawe be omusanvu: Mehumaani, Bizuta, Haruboona, Biguta, Abaguta, Zetari, ne Karukasi, abaamuweerezanga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ku lunaku olw'omusanvu, omwoyo gwa kabaka bwe gwasanyuka olw'omwenge, n'alagira Mekumani ne Bizusa ne Kalubona ne Bigusa ne Abagusa ne Zesali ne Kalukasi, abalaawe musanvu abaaweererezanga mu maaso ga Akaswero kabaka,