Esther 1:11 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
okugenda okuyita Nnabagereka Vasuti ajje mu maaso ge ng’atikkiddwa engule eya Nnabagereka, asobole okulaga obubalagavu bwe eri abantu n’abakungu, kubanga yali mulungi, mubalagavu okukamala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
okuleeta Vasuti kaddulubaale mu maaso ga kabaka ng'atikidde engule ey'obwakabaka ayolese eri amawanga n'abakungu obulungi bwe; kubanga kaddulubaale yali mulungi okutunuulira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'abalagira okugenda okuleeta Nnaabagereka Vasuti, ajje ng'atikkidde engule ku mutwe. Nnaabagereka ono yali mukazi mulungi mubalagavu. Kabaka n'ayagala amulage abakungu be n'abagenyi be bonna, bamulabe nga bw'ali omulungi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
okuteeta Vasuti kaddulubaale mu maaso ga kabaka ng'atikidde engule ey'obwakabaka okwolesa amawanga n'abakungu obulungi bwe kubanga yali mulungi okutunuulira: