Esther 1:12 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye abaweereza bwe baatuusa ekiragiro kya kabaka, Nnabagareka Vasuti n’agaana okugenda. Era ekyavaamu kabaka n’asunguwala, era obusungu bwe ne bubuubuuka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye kaddulubaale Vasuti n'agaana okujja nga kabaka bwe yalagira nga amutuumira abalaawe, kabaka kye yava asunguwala nnyo, ekiruyi kye ne kibuubuuka mu ye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye abalaawe bwe baategeeza Nnaabagereka Vasuti ekyo kabaka ky'alagidde, ye n'agaana okujja. Kino ne kisunguwaza nnyo kabaka, n'asuukiira olw'obusungu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye kaddulubaale Vasuti n'agaana okujja olw'ekiragiro kya kabaka bwe yamulagiriza abalaawe: kabaka kyeyava asunguwala ennyo, ekiruyi kye ne kibuubuuka mu ye.