Esther 1:13 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Kabaka yalina empisa ey’okwebuuzanga ku bakugu mu by’amateeka, era n’ateesa n’abasajja abagezigezi abategeera ebifa ku nsonga eyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo kabaka n'agamba abagezi abaategeera ebiro, kubanga eyo ye yali empisa ya kabaka okwebuuza ku bakugu mu by'amateeka n'emisango.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yali mpisa ya kabaka okwebuuza ku bakugu mu by'amateeka n'ebiragiro. Awo n'ayita abawi b'amagezi, kubanga be bamanyi ekisaana okukolebwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo kabaka n'agamba abagezi abaategeera ebiro, (kubanga eyo ye yali empisa ya kabaka eri bonna abaamanya amateeka n'emisango;