Esther 1:14 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Amannya ga bakungu abo abakulu omusanvu mu bwakabaka bwe Buperusi ne Bumeedi ge gano: Kalusena, ne Sesali, ne Adumasa, ne Talusiisi, ne Meresi, ne Malusema ne Memukani. Bano be baamubeeranga ku lusegere.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abasajja abali okumpi naye baali: Kalusena, Sesali, Adumasa, Talusiisi, Meresi, Malusema ne Memukani, abakungu omusanvu (7) ab'e Buperusi n'e Bumeedi, abaalabanga amaaso ga kabaka era abaatuulanga ku ntebe ez'oku mwanjo mu bwakabaka, abo be baamuddiriranga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Be yasinganga okwebuuzaako baali Karisena, Setari, Adimata, Tarusiisi, Meresi, Marisena, ne Memukani, abaami omusanvu aba Perusiya ne Mediya, abaali basinga okuba n'ebifo ebyawaggulu mu bwakabaka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ne Kalusena ne Sesali ne Adumasa ne Talusiisi ne Melesi ne Malusema ne Memukani, abakungu musanvu ab'e Buperusi n'e Bumeedi; abaalabanga amaaso ga kabaka era abaatuulanga ku ntebe ez'oku mwanjo mu bwakabaka, abo be baamuddirira:) nti