Esther 1:15 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Kabaka n’ababuuza nti, “Okusinziira ku mateeka, Nnabagereka Vasuti agwanidde kibonerezo ki olw’obutagondera kiragiro kya Kabaka Akaswero ekimutuusibbwako abalaawe?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Okusinziira ku mateeka tunaakola tutya kaddulubaale Vasuti, kubanga takoze ekyo kabaka Akaswero ky'amulagidde; bwamutumidde abalaawe?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'abagamba nti: “Nze, Kabaka Ahaswero, nasindise abalaawe eri Nnaabagereka Vasuti, nga nnina kye mmulagira, naye yagaanye okukigondera! Kale amateeka gagamba gatya? Era kiki ekiteekwa okukolebwa ku Nnaabagereka ono?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Tunaakola tutya kaddulubaale Vasuti ng'amateeka bwe gali, kubanga takoze ekyo kabaka Akaswero ky'amulagirizza abalaawe?