Esther 1:16 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Memukani n’addamu Kabaka n’abakungu nti, “Nnabagereka Vasuti asobezza nnyo, ate si eri Kabaka yekka, naye n’eri abakungu n’abantu bonna ab’omu bitundu byonna Kabaka Akaswero by’afuga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Memukani n'addamu mu maaso ga kabaka n'abakungu nti, “Vasuti kaddulubaale tanyoomye kabaka yekka era naye n'abakungu bonna n'amawanga gonna agali mu masaza gonna aga kabaka Akaswero.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Memukani n'ategeeza kabaka n'abaami be nti: “Nnaabagereka Vasuti tanyoomye kabaka yekka, naye n'abaami ba kabaka bonna. Mu mazima, anyoomye buli musajja mu matwale gonna aga Kabaka Ahaswero.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Memukani n'addamu mu maaso ga kabaka n'abakungu nti Vasuti kaddulubaale tayonoonye kabaka yekka era naye n'abakungu bonna n'amawanga gonna agali mu masaza gonna aga kabaka Akaswero.