Esther 1:17 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era olw’enneeyisa Nnabagereka gye yeeyisizaamu, bwe kinaamanyibwa abakyala, nabo bajja kunyoomanga ba bbaabwe nga bagamba nti, ‘Nga Kabaka Akaswero yalagira Nnabagereka Vasuti okuleetebwa gy’ali, n’ajeema.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga ekikolwa kino ekya kaddulubaale kiryatiikirira mu bakazi bonna okunyoomanga babbaabwe mu maaso gaabwe bwe kinaabuulirwanga nti, ‘Kabaka Akaswero yalagira Vasuti kaddulubaale okuleetebwa mu maaso ge naye n'atajja.’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Buli mukazi mu bwakabaka, ajja kutandika okunyooma bba, amangu ddala ng'awulidde Nnaabagereka ky'akoze. Bajja kugamba nti: ‘Kabaka Ahaswero yalagira Nnaabagereka Vasuti okujja gy'ali, Vasuti n'agaana.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga ekikolwa kino ekya kaddulubaale kiryatiikirira mu bakazi bonna okunyoomesanga babbaabwe mu maaso gaabwe bwe kinaabuulirwanga nti Kabaka Akaswero yalagira Vasuti kaddulubaale okuleetebwa mu maaso ge naye n'atajja.