Esther 1:18 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era olunaku lwa leero abakyala bonna mu Buperusi ne Bumeedi aba bakungu abawulidde ku nneeyisa ya Nnabagereka bajjanga kweyisa mu ngeri y’emu eri abakungu ba Kabaka. Era obunyoomi wamu n’obutabanguko tebuggwengawo mu maka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ku lunaku luno abakyala ab'e Buperusi n'e Bumeedi abawulidde ekikolwa kya kaddulubaale banaagamba bwe batyo abakungu bonna aba kabaka. Kale walibaawo okunyooma kungi n'obusungu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abakyala b'abaami bo mu Perusiya ne Mediya, bwe banaawulira nga Nnaabagereka bwe yeeyisizza, bajja kukitegeeza babbaabwe nga n'olunaku terunnaziba. Abakyala buli wantu banaaba tebakyassaamu babbaabwe kitiibwa, era abasajja bajja kusunguwalira bakazi baabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ku lunaku luno abakyala ab’e Buperusi n'e Bumeedi abawulidde ekikolwa kya kaddulubaale banaagamba bwe batyo abakungu bonna aba kabaka: Kale walibaawo okunyooma kungi n'obusungu.