Esther 1:19 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Noolwekyo Kabaka bw’anaasiima, awe ekiragiro, era kiwandiikibwe mu mateeka ga Buperusi ne Bumeedi agatakyuka, nti Vasuti aleme okujja nate mu maaso ga Kabaka Akaswero. Ate n’ekifo kye eky’Obwannabagereka, kiweebwe omukazi omulala amusinga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kabaka bw'anaasiima bw'atyo, alaalike ekiragiro kya kabaka, era kiwandiikibwe mu mateeka aga Abaperusi n'Abameedi kireme okuwaanyisibwa, Vasuti aleme okujja nate mu maaso ga kabaka Akaswero; era n'obukulu bwe obwa kaddulubaale kabaka abuwe omulala amusinga obulungi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bw'oba ng'osiimye, ayi Ssaabasajja, fulumya ekirangiriro ekigamba nti: ‘Vasuti taliddayo kulabika mu maaso ga Kabaka Ahaswero.’ Lagira kiwandiikibwe mu mateeka ga Perusiya ne Mediya, kireme kukyusibwa ennaku zonna. Ate ekifo kye eky'Obwannaabagereka, kiweebwe omukazi omulala amusinga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)