Esther 1:20 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo ekiragiro kya kabaka bwe kinaabuna mu bwakabaka bwonna, abakyala bonna banassangamu ba bbaabwe ekitiibwa okuva ku wawagulu okutuukira ddala ku wawansi asembayo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo bwe banaalaalika etteeka lya kabaka ly'anaateeka okubunya obwakabaka bwe bwonna, kubanga bunene, kale abakazi bonna banassangamu ekitiibwa babbaabwe, abakulu n'abato.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekiwandiiko kyo bwe kinaabunyisibwa wonna mu bwakabaka bwo buno obunene bwe butyo, buli mukazi ajja kussangamu bba ekitiibwa, bba k'abe mugagga oba mwavu.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo bwe banaalaalika etteeka lya kabaka ly'anaateeka okubunya obwakabaka bwe bwonna, (kubanga bunene,) kale abakazi bonna banassangamu ekitiibwa babbaabwe, abakulu n'abato.