Esther 1:22 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’aweereza obubaka eri ebitundu byonna eby’obwakabaka buli ssaza ebbaluwa yaayo, era buli bantu mu lulimi lwabwe nga bugamba nti buli musajja afugenga mu nnyumba ye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
kubanga yaweereza ebbaluwa mu masaza gonna aga kabaka, mu buli ssaza ng'empandiika yaalyo bwe yali, na buli ggwanga ng'olulimi lwabwe bwe lwali, buli musajja afugenga mu nnyumba ye ye, era akiraalike ng'olulimi lw'abantu be bwe lwali.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekiwandiiko ne kiweerezebwa mu buli kitundu ekiri mu matwale ga kabaka, mu lulimi ne mu mpandiika eya buli kitundu, kisobozese buli musajja okubeera n'obuyinza, era n'okukozesa olulimi lw'eggwanga lye mu maka ge.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kubanga yaweereza ebbaluwa mu masaza gonna aga kabaka; mu buli ssaza ng'empandiika yaalyo bwe yali, na buli ggwanga ng'olulimi lwabwe bwe lwali, buli musajja afugenga mu nnyumba ye ye, era akiraalike ng'olulimi lw'abantu be bwe lwali.