Esther 1:3 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
mu mwaka ogwokusatu ogw’obufuzi bwe, yagabula abakungu n’abaami be abakulu embaga. Abaduumizi ba magye aga Buperusi ne Bumeedi, n’abalangira n’abakungu b’amasaza bonna baagiriko.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
mu mwaka ogwokusatu ogw'okufuga kwe n'afumbira embaga abakungu be bonna n'abaddu be; n'abakulu b'amaggye ag'e Buperusi n'e Bumeedi, abakungu n'abakulu b'amasaza nga bali mu maaso ge,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Kabaka Ahaswero, mu mwaka ogwokusatu ogw'obufuzi bwe, n'agabula abafuzi n'abaami be bonna ekijjulo. Ab'amagye ga Perusiya ne Mediya, awamu n'abakungu n'abaami b'amasaza, nabo baaliwo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
mu mwaka ogw'okusatu ogw'okufuga kwe n'afumbira embaga abakungu be bonna n'abaddu be; obuyinza bw'e Buperusi n'e Bumeedi, abakungu n'abakulu b'amasaza nga bali mu maaso ge: