Esther 1:5 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ennaku ezo bwe zaggwaako, Kabaka n’agabula abantu bonna okuva ku asemberayo ddala okutuuka ku asingirayo ddala ekitiibwa embaga endala eyali mu luggya, mu lubiri e Susani okumala ennaku musanvu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ennaku ezo bwe zaggwaako, kabaka n'afumbira embaga abantu bonna abaali awo mu lubiri lw'e Susani, abakulu n'abato, ennaku musanvu, mu luggya olwali mu maaso g'ennimiro z'olubiri lwa kabaka;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekiseera ekyo bwe kyaggwaako, kabaka n'agabula abantu be bonna, abagagga n'abaavu, abaali mu kibuga ekikulu Susa, ekijjulo ekyamala ennaku omusanvu, nga kigabulirwa mu kidaala ekyakolebwa mu lubiri lwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ennaku ezo bwe zaatuukirira, kabaka n'afumbira embaga abantu bonna abaali bali awo mu lubiri w'e Susani, abakulu n'abato, ennaku musanvu, mu luggya olw'oku lusuku olw'olubiri lwa kabaka;