Esther 1:6 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Oluggya lwalimu entimbe ez’engoye enjeru n’eza bbululu, nga zisibiddwa n’emiguwa egya linena omulungi n’olugoye olwa kakobe nga lusibiddwa n’empeta eza ffeeza ku mpagi ez’amayinja aganyirira. Waaliwo n’ebitanda ebya zaabu n’effeeza ku lubalaza olwaliire n’amayinja aganyirira, amamyufu, n’ameeru, n’aga kyenvu n’amaddugavu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
waaliwo ebitimbiddwa eby'olugoye olweru n'olwa nnawandagala n'olwa kaniki, nga zisibiddwa n'emigwa egya bafuta ennungi n'olw'effulungu n'empeta eza ffeeza n'empagi ez'amayinja aganyirira, ebitanda byali bya zaabu ne ffeeza ku mayinja amaaliire aganyirira, amamyufu n'ameeru n'aga kyenvu n'amaddugavu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekidaala ekyo kyali kitimbiddwa entimbe ez'olugoye olweru n'olwa bbululu, nga zisibiddwa n'empeta eza ffeeza, n'emiguwa egya kakobe, ku mpagi ez'amayinja aganyirira. Ebitanda ebya zaabu ne ffeeza byali biteekeddwa ku mayinja amaaliire agenjawulo, aganyirira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
waaliwo ebitimbe eby'engoye olweru n'olwa nnawandagala n'olwa kaniki, nga bisibiddwa n'emigwa egya bafuta ennungi n'olw'effulungu n'empeta eza ffeeza n'empagi ez'amayinja aganyirira: ebitanda byali bya zaabu ne ffeeza ku mayinja amaaliire aganyirira, amamyufu n'ameeru n'aga kyenvu n'amaddugavu.