Esther 1:7 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu kugabula kwa kabaka, wayini yaweerezebwa mu bikopo bya zaabu, nga buli kimu tekifanagana na kinnaakyo, ne wayini wa Kabaka yali mungi ddala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Eby'okunywa byagabulirwa mu binywerwamu ebya zaabu, ebinywerwamu ebyo byali byanjawulo nga tebifaanana, n'omwenge gwa kabaka gwali mungi nnyo, ng'obugabi bwa kabaka bwe bwali.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omwenge gwagabulirwa mu bikopo bya zaabu ebyenjawulo, nga tewali wadde ebibiri ebifaanagana, era kabaka yagabula omwenge mungi ddala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne babanywesa mu bintu ebya zaabu, (ebintu nga tebifaanana byokka na byokka,) n'omwenge ogwa kabaka mungi nnyo, ng'obugabi bwa kabaka bwe bwali.