Esther 1:8 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Buli mugenyi yanywanga nga bwe yayagala kubanga kabaka yalagira nti, “Buli mugenyi anywe nga bw’ayagala.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'okunywa ne kuba ng'amateeka bwe gali; nga tewali ayinza okuwaliriza, kubanga kabaka bwe yali alagidde bw'atyo abaami bonna ab'omu nnyumba ye bakolenga buli muntu nga bw'ayagala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Tewaali tteeka liwaliriza muntu kunywa, kubanga kabaka yalagira abaweereza bonna ab'omu lubiri, buli omu okumuwa nga bw'ayagala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'okunywa ne kuba ng'amateeka bwe gali; nga tewali ayinza okuwaliriza: kubanga kabaka bwe yali alagidde bw'atyo abaami bonna ab'omu nnyumba ye bakolenga buli muntu nga bw'ayagala: