Esther 10:3 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Moluddekaayi Omuyudaaya ye yali addirira Kabaka Akaswero mu buyinza, era yali mukulu mu Bayudaaya ate nga bamussaamu nnyo ekitiibwa, kubanga yakolanga bulungi abantu be, ate era ng’ayagaliza ezzadde lye lyonna emirembe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga Moluddekaayi Omuyudaaya ye yaddiriranga kabaka Akaswero, era yali mukulu mu Bayudaaya, era nga akkirizibwa ekibiina kya baganda be; ng'ayagaliza abantu be obulamu obulungi, era ng'abuulira ezzadde lye lyonna emirembe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Moruddekaayi Omuyudaaya, ye yaddiriranga Kabaka Ahaswero mu kitiibwa, era yali mukulu mu Bayudaaya. Bayudaaya banne baamwagalanga, kubanga yakoleranga abantu be ebirungi, era ng'ayagaliza ab'eggwanga lye emirembe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga Moluddekaayi Omuyudaaya yaddirira kabaka Akaswero, era yali mukulu mu Bayudaaya, era yakkirizibwa ekibiina kya baganda be; ng'ayagala okukola abantu be obulungi, era ng'abuulira ezzadde lye lyonna emirembe.