Esther 2:11 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Buli lunaku Moluddekaayi yalagangako mu luggya lw’ennyumba ya bakyala okumanya ebyafanga ku Eseza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era Moluddekaayi n'ayitanga buli lunaku mu maaso g'oluggya lw'ennyumba ey'abakazi, okumanya Eseza bw'ali, era n'ebimukwatako.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Buli lunaku, Moruddekaayi yeeyisaayisanga mu maaso g'oluggya lw'ekisulo ky'abazaana, asobole okumanya ebifa ku muwala we.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era Moluddekaayi n'atambuliranga buli lunaku mu maaso g'oluggya lw'ennyumba ey'abakazi, okumanya Eseza bw'ali, era ky'alibeera.