Esther 2:13 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’atyo omuwala n’alyokanga agenda eri Kabaka. Omuwala bwe yatuukanga okugenda ewa Kabaka yabanga wa ddembe okuweebwa kyonna ky’ayagala okuva mu nnyumba y’abakyala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale bw'atyo omuwala bwe yagendanga eri kabaka, kyonna kye yayagalanga y'akiweebwanga okugenda nakyo ng'ava mu nnyumba ey'abakazi ng'agenda mu nnyumba ya kabaka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omuwala bwe yabanga agenda eri kabaka mu ngeri eyo, buli ky'asaba ave nakyo mu nnyumba y'abazaana, okugenda mu lubiri lwa kabaka, kyamuweebwanga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kale bw'atyo omuwala n’alyoka ajja eri kabaka, kyonna kye yayagala n'akiweebwa okugenda naye ng'ava mu nnyumba ey'abakazi ng'agenda mu nnyumba ya kabaka.