Esther 2:14 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yagendangayo kawungeezi, ate bwe bwakeeranga, n’addayo mu kifo ekirala era eky’abakyala ekyalabirirwanga Saasugazi, omulaawe wa Kabaka eyakuumanga abakyala ba Kabaka abalala. Era omuwala oyo teyaddanga wa Kabaka wabula ng’amusiimye, era ng’amutumizza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yagendanga akawungeezi n'akomawo enkya mu nnyumba ey'abakazi eyokubiri nnaakwasibwa Saasugazi omulaawe wa kabaka eyakuumanga abazaana; teyaddangayo nate eri kabaka, wabula nga kabaka amusanyukidde, era ng'ayitiddwa n'erinnya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yatwalibwanga ewa kabaka akawungeezi, ate enkeera n'aggyibwayo, n'atwalibwa mu nnyumba y'abazaana endala, erabirirwa Saasugazi omulaawe. Omuwala teyaddangayo ewa kabaka, okuggyako nga kabaka amutumizza ng'amuyita n'erinnya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yagenda akawungeezi n'akomawo enkya mu nnyumba ey'abakazi ey'okubiri mu mukono gwa Saasugazi omulaawe wa kabaka eyakuumanga abazaana: teyayingira nate eri kabaka, wabula nga kabaka amusanyukidde, era ng'ayitiddwa n'erinnya.