Esther 2:15 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo oluwalo lwa Eseza omuwala eyakuzibwa Moluddekaayi, ate nga muwala wa Abikayiri, eyalina oluganda ku Moluddekaayi, bwe lwatuuka okugenda eri Kabaka, Eseza talina birala bye yasaba okuggyako ebyo Kegayi, omulaawe wa Kabaka bye yamuwa. Era Eseza n’aganja mu maaso g’abo bonna abaamutunuulira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo oluwalo lwa Eseza omuwala wa Abikayiri kitaawe wa Moluddekaayi omuto, gwe yali atwalanga omwana we bwe lwali lutuuse, okuyingira eri kabaka, teyaliiko kye yeetaaga wabula ebyo Kegayi, omulaawe wa kabaka, omukuumi w'abakazi, bye yalagira. Eseza n'aganja mu maaso g'abo bonna abaamutunuulira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Esiteeri, muwala wa Abihayili, kitaawe omuto owa Moruddekaayi, era Moruddekaayi gwe yayola ng'omwana we ddala, bwe yatuusa ekiseera kye eky'okugenda eri kabaka, talina bye yasaba, okuggyako ebyo Hegayi omulaawe wa kabaka, era eyali alabirira abakazi, bye yamugamba, era ne yeewuunyisa buli eyamulabako.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo oluwalo lwa Eseza omuwala wa Abikayiri kitaawe wa Moluddekaayi omuto eyamutwala okuba omwana we bwe lwali lutuuse, okuyingira eri kabaka, teyaliiko kye yeetaaga wabula ebyo Kegayi, omulaawe wa kabaka, omukuumi w'abakazi, bye yalagira. Eseza n'aganja mu maaso g'abo bonna abaamutunuulira.