Esther 2:17 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kabaka n’ayagala nnyo Eseza okukira abakyala abalala bonna, era n’aganja mu maaso ge okusinga abawala embeerera bonna. N’amutikkira engule okuba Nnabagereka mu kifo kya Vasuti.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo kabaka n'ayagala Eseza okusinga abakazi bonna, n'alaba ekisa n'okuganja mu maaso ge okusinga abawala bonna, n'okuteeka n'ateeka engule ey'obwakabaka ku mutwe gwe n'amufuula Nnaabagereka mu kifo kya Vasuti.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo kabaka n'ayagala Esiteeri okusinga abakazi bonna. N'amusiima era n'amuganza okukira abawala abalala. Bw'atyo n'amutikkira engule ey'obwakabaka, era n'amufuula Nnaabagereka mu kifo kya Vasuti.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo kabaka n'ayagala Eseza okusinga abakazi bonna, n'alaba ekisa n'okuganja mu maaso ge okusinga abawala bonna: n'okuteeka n'ateeka engule ey'obwakabaka ku mutwe gwe n'amufuula kaddulubaale mu kifo kya Vasuti.