Esther 2:18 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Kabaka n’akolera Eseza embaga ennene, n’ayita abakungu be wamu n’abaami be, era n’alangirira abantu okusonyiyibwa emisolo mu bitundu byonna, ate n’agaba n’ebirabo nga bwe yayagala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo kabaka n'alyoka afumbira abakungu be bonna n'abaddu be embaga enkulu, embaga ya Eseza; n'awa amasaza okusonyiyiwa emisolo, n'agaba ebirabo, ng'obugabi bwa kabaka bwe bwali.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo kabaka n'akola embaga nnene eyaliko abaami be bonna, n'abaweereza be ng'awasizza Esiteeri. Kabaka n'alangirira olunaku olw'okuwummula mu matwale ge, era n'agaba n'ebirabo bingi ebyatuukana n'ekitiibwa kye nga kabaka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo kabaka n'alyoka afumbira abakungu be bonna n'abaddu be embaga enkulu, embaga ya Eseza; n'awa amasaza okusonyiyibwa, n'agaba ebirabo, ng'obugabi bwa kabaka bwe bwali.