Esther 2:20 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Eseza yakuuma ekyama Moluddekaayi kye yali amukuutidde, eky’obutayogera ekika kye newaakubadde eggwanga lye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Eseza yali tategeezanga ekika kye bwe kyali newakubadde abantu be; nga Moluddekaayi bwe yamukuutira; kubanga Eseza yaagondera ekiragiro kya Moluddekaayi nga bwe yakolanga bwe yali ng'akyamulera.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Esiteeri yali tayogeranga maka mw'asibuka, wadde eggwanga lye, kubanga Moruddekaayi yali amukuutidde obutabuulirako muntu n'omu. Esiteeri n'amugondera ne mu kino, nga bwe yamugonderanga mu byonna mu buto, ng'akyali mu maka ge.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Eseza yali tategeezanga ekika kye bwe kyali newakubadde abantu be; nga Moluddeksayi bwe yamukuutira: kubanga Eseza yakola ekiragiro kya Moluddekaayi nga bwe yakolanga bwe yali ng'akyamulera.