Esther 2:23 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo ekigambo ekyo bwe baakyekenneenya, ne kirabika nga kituufu, abasajja abo bombi ne bawanikibwa ku kalabba. Awo ebigambo bino byonna ne biwandiikibwa mu kitabo eky’ebyafaayo ebya buli lunaku mu maaso ga Kabaka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ekigambo ekyo bwe baakyekenneenya, ne kirabikanga kyali kituufu, bombi ne bawanikibwa ku muti. Awo ne kiwandiikibwa mu kitabo eky'ebibaawo ebikulu mu maaso ga kabaka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe baabuuliriza, ne basanga nga bwe kityo bwe kiri. Abasajja abo bombi ne bawanikibwa ku kalabba. Ne kiwandiikibwa, nga kabaka alaba, mu kitabo ky'ebibaawo buli lunaku.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ekigambo ekyo bwe baakikenneenya, ne kirabika nga bwe kyali bwe kityo, bombi ne bawanikibwa ku muti: awo ne kiwandiikibwa mu kitabo eky'ebigambo ebya buli lunaku mu maaso ga kabaka.