Esther 2:3 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kabaka alonde ababaka mu buli kitundu mu bwakabaka bwe, bamuleetere abawala abato ababalagavu abalungi mu lubiri lwe e Susani bakuumibwe mu nnyumba y’abakyala. Era Kegayi omulaawe wa Kabaka avunaanyizibwe abawala abo, ng’abawa ne by’okulungiya byonna bye beetaaga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era kabaka ateekewo abaami mu masaza gonna ag'omu bwakabaka bwe, bakuŋŋaanyize abawala abato abalungi bonna e Susani mu lubiri mu nnyumba y'abakazi, bakwasibwe Kegayi omulaawe wa kabaka, omukuumi w'abakazi; era ebintu byabwe eby'okwerongoosa bibaweebwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Tuma abaami bo mu bitundu byonna eby'omu bwakabaka bwo, bakuŋŋaanyize abawala bonna abato abalungi era embeerera, mu nnyumba yo ey'abakazi mu kibuga ekikulu Susa, bakwasibwe omulaawe wo Hegayi, alabirira abazaana, era bafumbirirwe bulungi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era kabaka ateekewo abaami mu masaza gonna ag'omu bwakabaka bwe, bakuŋŋaanyize abawala abato abalungi bonna e Susani mu lubiri mu nnyumba y'abakazi, mu mukono gwa Kegayi omulaawe wa kabaka, omukuumi w'abakazi; era ebintu byabwe eby'okulongoosa babiweebwe: