Esther 2:4 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo omuwala anasiimibwa kabaka, ye anafuuka Nnabagereka mu kifo kya Vasuti.” Ekirowoozo ekyo kyasanyusa kabaka, era n’akissa mu nkola.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo omuwala kabaka gw'alisiima abe Nnaabagereka mu kifo kya Vasuti.” Ekigambo ekyo ne kisanyusa kabaka; era n'akola bw'atyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Olwo nno onoosobola okulondamu omuwala abasinga bonna, omufuule Nnaabagereka mu kifo kya Vasuti.” Kabaka n'asiima amagezi ago era n'agakolerako.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
awo omuwala kabaka gw'alisiima abe kaddulubaale mu kifo kya Vasuti. Ekigambo ekyo ne kisanyusa kabaka; n'akola bw'atyo.