Esther 2:6 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
eyawaambibwa Nebukadduneeza, Kabaka we Babulooni n’aleetebwa mu buwaŋŋanguse nga y’omu ku basibe abaasibibwa ne Yekoniya, eyali Kabaka wa Yuda, okuva e Yerusaalemi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
eyaggibwa mu Yerusaalemi wamu n'abasibe abaatwalirwa awamu ne Yekoniya kabaka wa Yuda, Nebukadduneeza kabaka w'e Babbulooni gwe yatwala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Moruddekaayi yali omu ku abo abaanyagibwa okuva mu Yerusaalemu, Kabaka Nebukadunezzari ow'e Babilooni bwe yawangula era n'awaŋŋangusa Yekoniya, kabaka wa Buyudaaya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
eyaggibwa mu Yerusaalemi wamu n'abasibe abaatwalirwa awamu ne Yekoniya kabaka wa Yuda, Nebukadduneeza kabaka w'e Babulooni gwe yatwala.