Esther 2:8 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo olwatuuka ekiragiro kya Kabaka bwe kyalangirirwa, abawala bangi, nga ne Eseza mwali ne baleetebwa mu lubiri e Susani ne bakwasibwa Kegayi eyali alabirira abakyala ba Kabaka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuuka ekiragiro kya kabaka n'etteeka lye bwe byawulirwa, n'abawala bangi nga bakuŋŋaanidde e Susani mu lubiri ne baakwasibwa Kegayi, awo Eseza naye n'atwalibwa mu nnyumba ya kabaka nnaakwasibwa Kegayi omukuumi w'abakazi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekiragiro kya kabaka bwe kyalangirirwa, abawala bangi ne baleetebwa mu kibuga ekikulu Susa. Mu abo ne Esiteeri mwe yajjira. Era naye n'ateekebwa mu lubiri, mu mikono gya Hegayi eyali alabirira abakazi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka ekiragiro kya kabaka n'etteeka lye bwe byawulirwa, n'abawala bangi nga bakuŋŋaanidde e Susani mu lubiri mu mukono gwa Kegayi, awo Eseza n'atwalibwa mu nnyumba ya kabaka mu mukono gwa Kegayi omukuumi w'abakazi.