Esther 2:9 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Eseza n’asiimibwa Kegayi, era n’amuwa ebintu eby’okulungiya, n’emmere ey’enjawulo. Era yamuwa n’abazaana musanvu abaalondebwa okuva mu lubiri lwa Kabaka, era n’amuteeka mu kifo ekisinga obulungi awakuumibwa abakyala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo omuwala oyo n'amusanyusa, n'afuna ekisa gyali; n'amuyisa bulungi; n'ayanguwa okumuwa ebintu bye eby'okwerongoosa wamu n'emigabo gye n'abawala omusanvu baagwanira okuweebwa nga baggibwa mu nnyumba ya kabaka, n'amujjulula ye n'abawala be n'abayingiza mu kifo ekyasinga obulungi mu nnyumba ey'abakazi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omuwala oyo n'asanyusa nnyo Hegayi, Hegayi n'amuyisa bulungi n'ekisa. Teyalwa, n'atandika okumufumbirira, ng'asiimuulwa n'omuzigo, n'okuweebwa emmere ey'enjawulo. N'ateekebwa mu kifo ekisinga obulungi mu kisulo ky'abazaana, ng'alina n'abawala musanvu abaalondebwa mu b'omu lubiri okumuweerezanga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo omuwala oyo n'amusanyusa, n'afuna ekisa eri ye; n'ayanguwa okumuwa ebintu bye eby'okulongoosa wamu n'emigabo gye n'abawala omusanvu abaagwanira okubamuwa nga baggibwa mu nnyumba ya kabaka: n'amujjulula ye n'abawala be n'abayingiza mu kifo ekyasinga obulungi mu nnyumba ey'abakazi.