Esther 3:1 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Oluvannyuma lw’ebyo Kabaka Akaswero n’akuza Kamani mutabani wa Kammedasa, Omwagaagi era n’amusukkiriza n’amuwa n’entebe ey’ekitiibwa okusinga abakungu abalala bonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo oluvannyuma lw'ebyo kabaka Akaswero n'akuza Kamani mutabani wa Kammedasa Omwagaagi n'amusukkiriza, n'agulumiza entebe ye okusinga abakungu bonna abali naye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebyo bwe byaggwa, Kabaka Ahaswero n'awa Hamani obwakatikkiro. Hamani yali mutabani wa Hammedata, asibuka mu Agagi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo oluvannyuma lw'ebyo kabaka Akaswero n'akuza Kamani mutabani wa Kammedasa Omwagaagi n’amusukkiriza, n'agulumiza entebe ye okusinga abakungu bonna abali naye.