Esther 3:11 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ate era Kabaka n’agamba Kamani nti, “Ensimbi zikuweereddwa n’abantu bakole nga bw’osiima.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo kabaka n'agamba Kamani nti, “Effeeza ngikuwadde, era n'abantu n'abo obakole nga bw'osiima.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka n'amugamba nti: “Ensimbi zisigaze, n'abantu nkukkirizza obakoleko ky'oyagala.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo kabaka n'agamba Kamani nti Effeeza eweereddwa gy'oli era n'abantu okubakola nga bw'osiima.