Esther 3:12 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne bayita abawandiisi ba Kabaka ku lunaku olw’ekkumi n’essatu mu mwezi ogw’olubereberye, ne bawandiika byonna nga Kamani bwe yalagira, ne bawandiikira abaamasaza ne bagavana ba buli kitundu, n’abakungu ba buli ggwanga; era n’eri buli kitundu ng’empandiika yaakyo bwe yali, n’eri buli ggwanga ng’olulimi lwabwe bwe lwali; byawandiikibwa mu linnya lya Kabaka Akaswero era ne biteekebwako akabonero n’empeta ya Kabaka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ne bayita abawandiisi ba kabaka mu mwezi ogwolubereberye ku lunaku lwagwo olw'ekkumi n'essatu, ne bawandiika nga byonna bwe byali Kamani bye yali alagidde abaamasaza ba kabaka, n'abaami abaafuganga buli ssaza n'abakulu ba buli ggwanga; eri buli ssaza ng'empandiika yaalyo bwe yali, n'eri buli ggwanga ng'olulimi lwabwe bwe lwali; mu linnya lya kabaka Akaswero mwe byawandiikirwa, era byateekebwako akabonero n'empeta ya kabaka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo ku lunaku olw'ekkumi n'essatu olw'omwezi ogusooka, abawandiisi ba kabaka ne bayitibwa. Ne bawandiika ekirangiriro, omuli byonna Hamani bye yalagira abakungu ba kabaka, n'abaami abafuga buli kitundu, n'abakulu ba buli ggwanga. Buli kitundu ne kiwandiikirwa mu mpandiika yaakyo, na buli ggwanga mu lulimi lwalyo. Ekirangiriro kyawandiikibwa mu linnya lya Kabaka Ahaswero, era ne kiteekebwako akabonero k'empeta ye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ne bayita abawandiisi ba kabaka mu mwezi ogw'olubereberye ku lunaku lwagwo olw'ekkumi n'essatu, ne bawandiika nga byonna bwe byali Kamani bye yali alagidde abaamasaza ba kabaka, n'abaami abaafuganga buli ssaza n'abakulu ba buli ggwanga; eri buli ssaza ng'empandiika yaalyo bwe yali, n'eri buli ggwanga ng'olulimi lwabwe bwe lwali: mu linnya lya kabaka Akaswero mwe byawandiikirwa, era byateekebwako akabonero n'empeta ya kabaka.