Esther 3:13 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebbaluwa zaatwalibwa ababaka mu bitundu byonna ebya Kabaka n’ekiragiro, eky’okuzikiriza, n’okutta n’okumalawo Abayudaaya bonna, abato n’abakadde, abaana abato n’abakazi mu lunaku lumu olw’ekkumi n’essatu mu mwezi ogw’ekkumi n’ebiri ogwa Adali, awamu n’okunyaga ebyabwe byonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne baweereza ebbaluwa ne zitwalibwa ababaka mu masaza gonna aga kabaka, okuzikiriza n'okutta n'okumalawo Abayudaaya bonna, abavubuka n'abakadde, abaana abato n'abakazi, ku lunaku lumu, olw'ekkumi n'essatu olw'omwezi ogw'ekkumi n'ebbiri, gwe mwezi ogwa Adali, n'okutwala ebintu byabwe okuba omunyago.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ababaka ne batwala ekirangiriro mu buli kitundu ky'obwakabaka. Ekirangiriro kyalimu okulagira okutta, okuzikiriza, n'okumalirawo ddala Abayudaaya bonna, abato n'abakulu, abakazi n'abaana, mu lunaku lumu olw'ekkumi n'essatu, olw'omwezi ogw'ekkumi n'ebiri, gwe mwezi ogwa Adaari, n'okunyaga ebintu byabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne baweereza ebbaluwa ne zitwalibwa ababaka mu masaza gonna aga kabaka, okuzikiriza n'okutta n'okumalawo Abayudaaya bonna, abato n'abakadde, abaana abato n'abakazi, ku lunaku lumu, ku lunaku olw'ekkumi n'essatu olw'omwezi ogw’ekkumi n'ebbiri, gwe mwezi Adali, n'okutwala omunyago gwabwe okuba omuyiggo.