Esther 3:15 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo ababaka ne banguwa okugenda olw’ekiragiro kya Kabaka, etteeka ne libuulirwa mu lubiri lw’e Susani. Awo Kabaka ne Kamani ne batuula okunywa; naye ekibuga kya Susani ne kisasamala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ababaka ne banguwa ne bagenda olw'ekiragiro kya kabaka, etteeka lyateekebwawo mu kibuga ekikulu Susani. Awo kabaka ne Kamani ne batuula okunywa; kyokka ng'ekibuga ekikulu Susani kisobeddwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka n'alagira ababaka ne bagenda, ne babunyisa mangu etteeka mu kibuga ekikulu Susa. Awo kabaka ne Hamani ne batuula okunywa, kyokka ng'ekibuga kyonna ekikulu Susa, kiguddemu akasattiro.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ababaka ne banguwa ne bagenda olw'ekiragiro kya kabaka, etteeka ne libuulirwa mu lubiri lw’e Susani: awo kabaka ne Kamani ne batuula okunywa; naye ekibuga kya Susani ne kibulwa amagezi.