Esther 3:2 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era abaddu ba Kabaka bonna abaabeeranga ku wankaaki wa Kabaka baamufukaamiriranga ne bamuwa ekitiibwa, kubanga kyali kiragiro ekyava eri Kabaka. Naye Moluddekaayi teyamufukaamirira wadde okumussaamu ekitiibwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo abaddu bonna aba kabaka abaali mu mulyango gwa kabaka, ne bavunnamiranga Kamani okumuwa ekitiibwa, nga kabaka bwe yali alagidde. Naye Moluddekaayi n'atamuvuunamiranga era n'atamuwa kitiibwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abaweereza ba kabaka bonna abaali ku mulyango gwa kabaka, ne bavuunamiranga Hamani okumuwa ekitiibwa, nga kabaka bwe yali alagidde. Kyokka Moruddekaayi n'atamuvuunamira, era n'atamuwa kitiibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo abaddu bonna aba kabaka abaali mu mulyango gwa kabaka ne bakutamira Kamani ne bamuvuunamira: kubanga kabaka bwe yali alagidde bw'atyo ebigambo bye. Naye Moluddekaayi teyamukutamira so teyamuvuunamira.