Esther 3:4 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Buli lunaku baayogeranga naye ku nsonga eyo naye ye n’agaana okubawuliriza. Ekyavaamu kwe kubuulira Kamani ku nsonga y’emu, balabe oba Moluddekaayi anaakyusa ku nneeyisa ye, kubanga yali yabategeezaako nti Muyudaaya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuuka bwe baayogeranga naye buli lunaku naye n'atabawulira, ne babuulira Kamani okulaba oba nga anaagumikiriza enneyisa ya Moluddekaayi; kubanga Moluddekaayi yali ababuulidde nga Muyudaaya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo olwatuuka, bwe baamala okumugambanga buli lunaku, n'agaana okubawulira, ne babuulira Hamani, okulaba oba nga anaagumiikiriza empisa za Moruddekaayi, kubanga Moruddekaayi yali ababuulidde nti Muyudaaya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka bwe baayogeranga naye buli lunaku naye n'atabawulira, ne babuulira Kamani okulaba ebigambo bya Moluddekaayi oba nga binaanywera: kubanga yali ababuulidde nga Muyudaaya.