Esther 3:7 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo mu mwezi ogw’olubereberye ogwa Nisani, mu mwaka ogw’ekkumi n’ebiri ogwa kabaka Akaswero, ne bakuba Puli, ke kalulu, mu maaso ga Kamani okufuna olunaku n’omwezi, era omwezi ogw’ekkumi n’ebiri ogwa Adali ne gulondebwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo mu mwezi ogwolubereberye, gwe mwezi gwa Nisani, mu mwaka ogw'ekkumi n'ebiri ogwa kabaka Akaswero, ne bakuba Puli, bwe bululu, mu maaso ga Kamani buli lunaku era buli mwezi okutuusa ku mwezi ogw'ekkumi n'ebiri, gwe mwezi Adali.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu mwaka ogw'ekkumi n'ebiri ogw'obufuzi bwa Kabaka Ahaswero, mu mwezi ogusooka, gwe mwezi ogwa Nisani, Hamani n'alagira okukubisa akalulu, ako ke kayitibwa Puri, okulaba olunaku n'omwezi, okuzikiririzaako Abayudaaya bonna mu lunaku lumu. Olunaku olwasalibwawo lwali olw'ekkumi n'essatu, olw'omwezi ogw'ekkumi n'ebiri ogwa Adaari.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo mu mwezi ogw'olubereberye, gwe mwezi Nisani, mu mwaka ogw'ekkumi n’ebiri ogwa kabaka Akaswero, ne bakuba Puli, bwe bululu, mu maaso ga Kamani buli lunaku era buli mwezi okutuusa ku mwezi ogw'ekkumi n'ebiri, gwe mwezi Adali.