Esther 3:8 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Kamani n’agamba Kabaka Akaswero nti, “Waliwo abantu abasaasaanye ate nga beeyawudde ku mawanga mu bitundu byonna eby’obwakabaka bwo; n’amateeka gaabwe ga njawulo ku g’abantu abalala bonna, era tebakuuma mateeka ga Kabaka. Noolwekyo tekigasa Kabaka kubagumiikiriza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Kamani n'agamba kabaka Akaswero nti, “Waliwo eggwanga ly'abantu abasaasaanye ne babuna mu masaza gonna ag'obwakabaka bwo; n'amateeka gaabwe tegafaanana mateeka ga ggwanga lyonna; so tebakwata mateeka ga kabaka, bw'ekityo tekigasa kabaka okubagumiikiriza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Hamani n'agamba Kabaka Ahaswero nti: “Waliwo eggwanga ly'abantu erimu erisaasaanye ne libuna mu bantu, mu bitundu byonna eby'obwakabaka bwo. Amateeka gaabwe, maawufu ku g'abantu abalala bonna, era tebakwata mateeka go, ayi Ssaabasajja. N'olwekyo tekiyamba kabaka okubagumiikiriza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Kamani n'agamba kabaka Akaswero nti Waliwo abantu abasaasaanye abataataaganye mu mawanga mu masaza gonna ag'obwakabaka bwo; n'amateeka gaabwe tegafaanana mateeka ga ggwanga lyonna; so tebakwata mateeka ga kabaka; kyekiva kirema okugasa kabaka okubaganya.