Esther 4:1 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Moluddekaayi bwe yategeera byonna ebyakolebwa, n’ayuza ebyambalo bye n’ayambala ebibukutu ne yeesiiga evvu, n’afuluma n’agenda mu kibuga wakati, n’akaaba n’eddoboozi ddene olw’ennaku ennyingi:
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Moluddekaayi bwe yategeera byonna ebyakolebwa, Moluddekaayi n'ayuza ebyambalo bye n'ayambala ebibukutu n'evvu, n'afuluma n'agenda mu kibuga wakati, n'akaaba n'eddoboozi ddene erijjudde ennaku.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Moruddekaayi bwe yamanya byonna ebyali bikoleddwa, n'ayuza ebyambalo bye olw'okunakuwala, ne yeesiba ebikutiya, ne yesiiga omutwe gwe gwonna evvu, n'ayita mu kibuga ng'akuba ebiwoobe eby'amaanyi,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Moluddekaayi bwe yategeera byonna ebyakolebwa, Moluddekaayi n'ayuza ebyambalo bye n'ayambala ebibukutu n'evvu, n'afuluma n'agenda mu kibuga wakati, n'akaaba n'eddoboozi ddene ery'ennaku nnyingi: