Esther 4:11 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Abakungu ba kabaka bonna n’abantu bonna ab’omu bitundu byonna eby’obwakabaka bakimanyi nti tewali musajja oba mukyala eyeeyanjula mu maaso ga Kabaka mu luggya olw’omunda ng’atayitiddwa kabaka. Era waliwo n’etteeka nti akolanga bw’atyo attibwenga, wabula nga Kabaka amugololedde omuggo gwe ogwa zaabu, n’aba omulamu. Naye wayiseewo ennaku amakumi asatu kasookedde mpitibwa kugenda wa kabaka.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Abaddu ba kabaka bonna n'abantu ab'omu masaza ga kabaka bamanyi nga buli muntu, oba musajja oba mukazi, anaayingiranga eri kabaka mu luggya olw'omunda atayitiddwa, waliwo etteeka limu eri ye, attibwenga, wabula abo kabaka b'agololera omuggo ogwa zaabu, oyo y'aba omulamu. Naye nze siyitibwanga kuyingira eri kabaka mu nnaku zino asatu.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Singa wabaawo omuntu, k'abe musajja oba mukazi, ayingira munda mu luggya, n'alaba kabaka nga tayitiddwa, omuntu oyo ateekwa kuttibwa. Etteeka lino buli omu alimanyi, okuva ku baweereza ba kabaka, okutuukira ddala ku bantu bonna ab'omu bitundu kabaka by'afuga. Wabula singa kabaka agololera omuntu omuggo gwe ogwa zaabu, olwo omuntu oyo tattibwa. Naye mmaze ennaku amakumi asatu nga siyitibwanga kugenda eri kabaka.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abaddu ba kabaka bonna n'abantu ab'omu masaza ga kabaka bamanyi nga buli muntu, oba musajja oba mukazi, anaayingiranga eri kabaka mu luggya olw'omunda atayitiddwa, waliwo etteeka limu eri ye, attibwenga, wabula abo kabaka b'agololera omuggo ogwa zaabu abeere omulamu: naye nze siyitibwanga okuyingira eri kabaka, ennaku ziri amakumi asatu.