Esther 4:13 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Moluddekaayi n’amuddamu nti, “Tolowooza nti olw’okuba oli mu lubiri lwa Kabaka, gwe onowonawo wekka mu Bayudaaya bonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Moluddekaayi n'abalagira okuddiza Eseza ebigambo nti, “ Tolowoozanga mu mwoyo gwo nga ggwe olw'okubeera mu nnyumba ya kabaka ogenda okuwona okusinga Abayudaaya bonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Moruddekaayi n'abagamba okuddamu Esiteeri nti: “Tolowooza nti mu Bayudaaya bonna, ggwe onoowonawo kubanga oli mu lubiri lwa kabaka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Moluddekaayi n'abalagira okuddiza Eseza ebigambo nti Tolowoozanga mu mwoyo gwo nga ggwe ogenda okuwona mu nnyumba ya kabaka okusinga Abayudaaya bonna.