Esther 4:14 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga ggwe bw’onoosirika mu kiseera kino, okubeerwa n’okulokolebwa kw’Abayudaaya kuliva awalala, naye ggwe n’ennyumba ya Kitaawo mulizikizibwa. Ate ani amanyi obanga wafuulibwa Nnabagereka lwa kiseera kino?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga bw'onoosirikira ddala mu biro bino, kale okulokoka n'okuwona kuliva awalala eri Abayudaaya, naye ggwe n'ennyumba ya kitaawo balizikirira. Era ani amanyi oba nga ozze mu bwa kaddulubaale olw'ebiro ebifaanana nga bino?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kubanga bw'onoosirika mu kiseera nga kino, Abayudaaya bajja kufuna obuyambi obw'okubawonya nga buva awalala, naye ggwe n'ab'ennyumba ya kitaawo, muzikirire. Ye ani amanyi oba nga wafuulibwa Nnaabagereka lwa biseera ebiri nga bino?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga bw'onoosirikira ddala mu biro bino, kale okulokoka n'okuwona kuliva awalala eri Abayudaaya, naye ggwe n'ennyumba ya kitaawo balizikirira: era ani amanyi oba nga ozze mu bwakaddulubaale olw'ebiro ebifaanana bwe bityo?