Esther 4:16 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Genda okuŋŋaanye Abayudaaya bonna abali mu Susani, musiibe ku lwange, so temulya wadde okunywa ekintu emisana n’ekiro okumala ennaku ssatu. Nze n’abaweereza bange abakyala tunaasiibira wamu nammwe. Ekyo nga kiwedde, ndigenda eri Kabaka, newaakubadde nga tekikkirizibwa mu mateeka. Bwe ndiba ow’okuzikirira, nzikirira.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Genda okuŋŋaanye Abayudaaya bonna abaliwo mu Susani, mu nsiibire, so temulya newakubadde okunywa ennaku ssatu emisana n'ekiro; era nange n'abawala bange tunaasiiba bwe tutyo, bwe ntyo bwe ndiyingira eri kabaka, ekitali kya mu mateeka; era bwe ndizikirira, ndizikirira.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Genda okuŋŋaanye Abayudaaya bonna abali mu Susa, musiibe ku lwange. Temulya wadde okubaako kye munywa, okumala ennaku ssatu. Nze n'abaweereza bange abakazi, tujja kukola ekintu kye kimu. Oluvannyuma nja kugenda eri kabaka newaakubadde nga tekikkirizibwa. Oba kufa, kale nnaafa!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Genda okuŋŋaanye Abayudaaya bonna abaliwo mu Susani, munsiibire, so temulya newakubadde okunywa ennaku ssatu emisana n'ekiro; era nange n'abawala bange tunaasiiba bwe tutyo: bwe ntyo bwe ndiyingira eri kabaka, ekitali kya mu mateeka: era bwe ndizikirira, ndizikirira.