Esther 4:3 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu buli kitundu ekiragiro kya Kabaka n’etteeka lye gye byatuukanga ne waba okukuba ebiwoobe bingi n’okusiiba n’okukaaba amaziga mangi mu Bayudaaya era bangi ku bo ne bambala ebibukutu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo mu buli ssaza ekiragiro kya kabaka n'etteeka lye, buli gye byatuukanga ne waba okuwuubaala kungi mu Bayudaaya n'okusiiba n'okukaaba amaziga n'okukuba ebiwoobe; era bangi ne baagalamira nga bambadde ebibukutu n'evvu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu bitundu by'amatwale byonna, etteeka lya kabaka n'ekiragiro kye gye byatuuka, Abayudaaya ne beesaasaabaga nnyo, ne basiiba, ne bakaaba amaziga, ne bakuba ebiwoobe, era bangi ne bagalamira mu vvu nga bambadde ebikutiya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo mu buli ssaza ekiragiro kya kabaka n'etteeka lye buli gye byatuukanga ne waba okuwuubaala kungi mu Bayudaaya n'okusiiba n'okukaaba amaziga n'okukuba ebiwoobe; kale bangi abaagalamira nga bambadde ebibukutu n'evvu.