Esther 4:5 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Eseza n’atumya Kasaki omu ku balaawe ba Kabaka, gwe yali ataddewo okumuweereza n’amukuutira okugenda okumanya ekizibu ekyali kituuse ku Moluddekaayi era n’ensonga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Eseza n'ayita Kasaki omu ku balaawe ba kabaka, gwe yali ataddewo okumuweereza, n'amukuutira okugenda eri Moluddekaayi okumanya ensonga nga bwe yali era ne lwaki kyali bw'ekityo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Esiteeri n'ayita omu ku balaawe ba kabaka eyali ateekeddwawo okumuweereza, eyayitibwanga Hataki, n'amutuma agende amanye byonna ebiriwo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Eseza n'ayita Kasaki omu ku balaawe ba kabaka, gwe yali ataddewo okumuweereza, n'amukuutira okugenda eri Moluddekaayi okumanya ekigambo ekyo bwe kyali n'ensonga yaakyo.