Esther 4:8 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era n’amuwa n’ebyaggyibwa mu kiwandiiko eky’etteeka eryalaalikibwa mu Susani, okuliraga Eseza n’okulimunnyonnyola ate era n’okukuutira Eseza okugenda amwegayiririre ye n’abantu be eri Kabaka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era n'amuwa n'ebyaggibwa mu kiwandiiko eky'etteeka eryalaalikibwa mu Susani okubazikiriza, alyoke abirage Eseza era abimunnyonnyole; n'okumukuutira ayingire eri kabaka amwegayirire era asabire abantu be kabaka abaasasire.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Moruddekaayi n'awa Hataki ebyali mu kirangiriro ekyali kifulumiziddwa mu Susa, ekiragira okusaanyaawo Abayudaaya. N'amugamba abitwalire Esiteeri era abimunnyonnyole, era amukuutire okugenda eri kabaka amwegayirire, era amusabe okukwatirwa abantu be Abayudaaya ekisa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era n'amuwa n'ebyaggibwa mu kiwandiike eky'etteeka eryalaalikibwa mu Susani okubazikiriza okulyolesa Eseza n'okulimubuulira; n'okumukuutira ayingire eri kabaka amwegayirire era asabire abantu be mu maaso ge.