Esther 5:1 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo ku lunaku olwokusatu, Kabaka yali atudde ku ntebe ey’obwakabaka mu kisenge ekinene ekyolekera omulyango, Eseza n’ayambala ebyambalo bye ebyobwannabagereka, n’ayimirira mu luggya olw’omunda olwokubiri okwolekera ekisenge ekyo ekinene.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuuka ku lunaku olwokusatu Eseza n'ayambala ebyambalo bye ebya Nnaabagereka, n'ayimirira mu luggya olw'omunda olw'ennyumba ya kabaka, okwolekera ennyumba ya kabaka, kabaka n'atuula ku ntebe ye ey'obwakabaka mu nnyumba ya kabaka okwolekera omulyango gw'ennyumba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ku lunaku olwokusatu, Esiteeri n'ayambala ebyambalo bye eby'Obwannaabagereka, n'agenda n'ayimirira mu luggya olwomunda olw'olubiri lwa kabaka, ng'atunuulidde ennyumba ya kabaka. Kabaka yali atudde ku ntebe ye ey'obwakabaka mu lubiri, ng'atunudde eri omulyango gw'olubiri.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka ku lunaku olw'okusatu Eseza n'ayambala ebyambalo bye ebya kaddulubaale, n'ayimirira mu luggya olw'omunda olw'ennyumba ya kabaka, okwolekera ennyumba ya kabaka: kabaka n'atuula ku ntebe ye ey'obwakabaka mu nnyumba ya kabaka okwolekera omulyango gw'ennyumba.