Esther 5:10 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Wakati mu ebyo byonna Kamani n’azibiikiriza era n’addayo eka. Oluvannyuma n’atumya mukyala we Zeresi ne mikwano gye,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era naye Kamani n'azibiikiriza n'addayo eka, n'atumya mikwano gye n'agamba ne Zeresi mukazi we okubeegattako.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka n'afuga obusungu bwe, n'addayo eka. Awo n'ayita mikwano gye ne bajja mu nnyumba ye, n'agamba ne mukyala we Zeresi okubeegattako.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era naye Kamani n'azibiikiriza n'addayo eka; n'atuma n'aleeta mikwano gye ne Zeresi mukazi we.